Translations:Baptism/19/lg

Twatula ebibi byaffe era netukyuka okubivako. Tetubera nga ababyeze netubisa wansi wa kapeti, naye tubyatula (1 Yokanna 1:9). Twogera engeri zonna zetubademu nga tukontana n'okwagala kwa Katonda. Tusaba Katonda okusonyiyibwa era netulekela awo okukola ebintu ebyo. N'okuyambibwako Katonda tukyusa endowoza zaffe era neneyisa zaffe era netubelawo nga okwagala kwa Katonda.