Translations:Church/46/lg
Tuli mubili gwa Yesu=eyo yengeri butya endagano empya gy'enyonyola enkolagana wakati wa Yesu n'abagobelezi be. Omubili kitegeza nti buly'omu alikitundutundu eranga ayina omulimu ogwenjawulo. Yesu yemutwe, twetaga okuba nga tugatidwa ku Ye okusobola Ye okubanga akwasaganya bulikimu era n'okutukulembera. Tutekedwa okubanga tukola fenna era nga omubili bwegukola. Mungeri eyo tufanana Yesu era asobola okukola nga ayita muffe.