Translations:Dealing with Money/16/lg

Ku sente kujilako okukemebwa. Oba kumulimu, nebalilwana bo oba n'emikwano, oba nga osasula omusolo eri gavumenti: Waliwo engeri ez'okulimba abalala. Abamu bo bamenyi b'amateka,abalala tebategelekeka,era nengeri endara zisobola okubera mumateka naye nga sizabwenkanya.Naye Yesu teyalimbako ku bantu era mubulambulukufu yagamba,"Kolera abalala ekyo kyoyagala bakukolere,"(Lukka 6:31) era "omukozi agwanira ky'akolede"(Lukka 10:7).