Translations:Dealing with Money/30/lg

Ffena twatandika obulamu bwaffe mubutto nga tuwebwa buwebwa. Katonda ayagala tukule era tuyige okutwala obuvunanyizibwa obw'obulamu bwaffe era n'obwabalala. Kinno kitegeza okugabana ekyo kyetuweledwa era n'okusiga mw'ekyo Katonda ky'ayagala. Nga Katonda bw'ayagala okugaba, Ayagala twagale okugaba era nga tukikola mudembe!