Translations:Forgiving Step by Step/1/lg
Ffena tuyayanira okwagalwa n'omukwano og'omubuziba naye ekyenaku nti ffena tusisinkanye kulumizibwa era oba olyawo tukozesedwa abalala. Kiluma era tubonabona mukyo. Nga ebiwundu ebyomubuliwo bwebiyinza okulumbibwa obuwuka nebikosebwa, ebiwundu mumitima gyaffe bifuka obukawu singa tetubako kyetukora. Okukiwa obuwi obude kyoka tekimara era tekiwonya!