Translations:Forgiving Step by Step/25/lg
Nga mungeri emu bwetuleta emisango gyaffe eri omulamuzi munsi eno, tusobola okuleta emisango eri katonda. Tetulina kutya nti tuyinza okumunyiza naye tusobola okubera abesimbu era netulaga empulila zaffe zonna. Nga tumaliliza, tulekula okunenyezebwa kwona era tuteka bulikimu kyona mumikono gya Katonda, tetweyongerayo nakusala musango naye tuleka okulamula eri Katonda yeka.