Translations:Forgiving Step by Step/6/lg

Okusonyiwa kwekusalawo okuta buli kunenya n'okunenyezebwa eri abalala, (Muteka mumikono gyamukana), okusinga okusala omusanga nze kenyini, nesiga Mukama omulamuzi omwenkanya, era Yye k'asalewo ekinatuka eri omuntu oyo. Okusonyiwa era kitegeza nti sikyamubalala bibi oba sikyamusako kibi kyona omuntu oyo eyanumya. Mungeri endala, nze nkyayina enkovu ku lw'okusobya kwe era sikyayinza kukyusa byamabega, kati nsalawo okukakana mudembe nakino era nsumulula omuntu oyo okuva eri bulibanja lyalina gyendi.