Translations:My Story with God/1/lg

Mu kitabo ky'Ebikolwa by'abatume 9:1-18,tusoma kungeri Mukama gyeyakyusamu obulamu bwa Pawulo okutandika okugobelera Yesu.Mu suula eya 22:1-21, Pawulo ayogera olugero lunno mumaaso g'ekibina ekinene era musuula eya 26:1-23, awa obujulizi ku lugero lwe mu kooti mumaaso ga kabaka. Tusobola okutebeleza nti Pawulo yagambanga abantu olugero lwe buliwamu weyagendanga.