Translations:Prayer/1/lg

Okusaaba kitegeza okwogera ne Katonda era kilinganga okuusa eri obulamu bwaffe obw'omwoyo. Katonda alina ky'akwagalamu era ayagala enkolagana naawe. Era ky'ekimu nga nemunkolagana zonna endala: Gyetweyongera enyo era mumazima okwogera ne banaffe, enkwatagana yaffe bweyeyongera mubuziba era n'okunywera.