Translations:Prayer/37/lg

Eky'okulabilako: omwana omutto ajja eri bazadebe nga ayagala okutwala ekikopo ky'amazzi ku mezza. Omuzadde ye amanyi nti emezza mpanvu eri omwana era n'asalawo okukitwala wamu n'omwana oyo. Naye omwana wadalu: “Agamba nedda! Kankikole” Kunkomelero omuzade n'akiliza. Naye nga bwebasubila, omwana osuula ekikopo.
Omuzade ogumya omwana, amuwa engoye enkalu era amusangulako amazzi. Nate era n'atessa nti batwale ekikopo bonna. Kumulundi guno omwana akiliza era bonna baaba basanyufu.