download: Pdficon.png
Odticon.png
Version: 1.3b

Okusonyiwa Mumitendera

Ffena tuyayanira okwagalwa n'omukwano og'omubuziba naye ekyenaku nti ffena tusisinkanye kulumizibwa era oba olyawo tukozesedwa abalala. Kiluma era tubonabona mukyo. Nga ebiwundu ebyomubuliwo bwebiyinza okulumbibwa obuwuka nebikosebwa, ebiwundu mumitima gyaffe bifuka obukawu singa tetubako kyetukora. Okukiwa obuwi obude kyoka tekimara era tekiwonya!
Mungeri ezimu tweyawula era netwezimbako ebisenge nga engeri ez'okwekuma, Ekivamu tetuganya muntu yena kutusemberera era tweyawula kubalala. Mungeri endala, tweyisa mungeri eyobusungu nga tuteka ensobi zaffe kubalala era netunonya okuwolela. Kino kiletera endowoza zaffe okumalibwawo n'obulumi obuletedwa omuntu omulala gyetuli.
Nga tukozesa engeri zino, tugezako okwekuma okuva era okukozesebwa mungeri embi eziyinza okweyongera, naye munkomelelo twelumya n'okusingawo. Mukweyongerayo, bwetuba nga tukosedwa, tetusobola kuyisa balala nakwagala – abantu balumya abantu.

Engeriyoka ey'okuva mukino kusonyiwa, ekiyinza okuba ekizibu singa tubanga twayita mubulumi bunji, naye ate singa tetusonyiwa tusigala nga tusibidwa ku muntu oyo eyatulumya neri ebyemabega, kubanga tetusobola kwelabila bwelabizi bulumi bwetwayitamu naye Mukama Katonda atwagala tube ba dembe, okuva eri obukawu, okuva eri okwagala okuwolera era n'okuva eri obulumi bw'ebyayita.

Okusonyiwa kyeki?

Okusonyiwa kwekusalawo okuta buli kunenya n'okunenyezebwa eri abalala, (Muteka mumikono gyamukana), okusinga okusala omusanga nze kenyini, nesiga Mukama omulamuzi omwenkanya, era Yye k'asalewo ekinatuka eri omuntu oyo. Okusonyiwa era kitegeza nti sikyamubalala bibi oba sikyamusako kibi kyona omuntu oyo eyanumya. Mungeri endala, nze nkyayina enkovu ku lw'okusobya kwe era sikyayinza kukyusa byamabega, kati nsalawo okukakana mudembe nakino era nsumulula omuntu oyo okuva eri bulibanja lyalina gyendi.
Kuno kuba kusalawo kwange nzeka, (tewali wekukwataganila na muntu oli yadde), oba omuntu oyo agya gyendi neyetonda oba nedda, oba wali oba taliwo, tetwesigama ku muntu eyatusobya nga tusonyiwa.
Newankubade okusonyiwa kilunji eri omuntu oyo, naye ekisoka mubyona nkikola kulwobulunji bwange. Bwetusonyiwa, tufuka badembe okuva eri empulila enkyamu okugeza nga okutya, obusungu, oba obukawu era kunkomelelo tuwonyezebwa nate.

Emitendera egy'okusonyiwa

Ebisela ebimu tukuba panya bwetwanguyiliza okwogela nti tusonyiye naye oluvanyuma netukizula nga wakyaliwo obulumi obukyasigalide mumitima gyaffe. N'olwekyo, tuyinza tutya okusonyiwa ddala ddala abalal? Emitendera gyino gyituyamba nga gyituyisa okuyita mungeri eyokusonyiwa.

Emitendera essatu egyisoka tugyiyitemu n'obwegendereza, kyandisinze nyo nga oyina akuyambako.

1. Kiki ekyatukawo?

  • Nyonyola ddala kiki ekyatukawo.
  • Ensobi ezabuligyo: Tusigale mubulambulukufu bw'akyo.

2. Kiki ekyanumya? Mungeri kii?

  • Empulila zaffe zamugaso era zamuwendo kukiki kyetuli.
  • Ensobi ezabuligyo: Tubuke omutendera guno naye tusigale kukituffu.

3. Menya ekibi

  • Tosusuta ebibi era togezako okubitukiliza. Manya engeri omuntu oli gyeyakusobyamu okuyita mubintu byeyakola oba by'atakola.
  • Ensobi ezabuligyo: Tutukiliza omuntu oli naye bwetutakiyita kibi tewasobola kubera kusonyiwa.

Kati tugenda mukusaba era tulete bulikimu kyona eri Katonda.

4. Leta emisango egyo egy'obutali bwenkanya eri Katonda.

  • Tugenda eri Katonda omulamuzi era netuleta emisango gyetulina eri omuntu oyo eyatusobya, tuyuwa oba tugula emitima gyaffe eri Katonda era netumugamba ensonga enkulu okuva mumitendera essatu egyo.
  • Ensobi ezabuligyo: Tubuka omutendera guno oba tukweka empulila zaffe okuva eri Katonda.

5. Yogera nti osonyiwa.

  • Kati twatula nti tusonyiwa (“nsonyiwa ___ kulwa ___”) era tukola okusalawo okuteka ensonga zona mu mikono gya Katonda.
  • Ensobi ezabuligyo: Tutera okugamba Katonda kiki ky'ayina okukolela omuntu oyo (tukolimila omuntu oyo) oba tugamba nti twagala kusonyiwa (“Mukama nyamba nsonyiwe”) naye nga mumazima tetutwala kusalawo.

Okuleta emisango egy'obutali bwenkanya eri Katonda.

Katonda yemulamuzi era tulina edembe okuleta bulibutari bwenkanya gy'ali. Tusobola okumwesiga nti agya kuleta obwenkanya era nga agya kulamula buly'omu, era ogo simulimu gwaffe. Tetulina dembe kuwolera.
Nga mungeri emu bwetuleta emisango gyaffe eri omulamuzi munsi eno, tusobola okuleta emisango eri katonda. Tetulina kutya nti tuyinza okumunyiza naye tusobola okubera abesimbu era netulaga empulila zaffe zonna. Nga tumaliliza, tulekula okunenyezebwa kwona era tuteka bulikimu kyona mumikono gya Katonda, tetweyongerayo nakusala musango naye tuleka okulamula eri Katonda yeka.

Okweyongerayo.

Nga tweyambisa omuyambi waffe
Kizibu okuyita mu mitendera gyino gyona egy'okusonyiwa ffeka na ffeka nga tulina ebintu ebimu byetutatunulide. Funayo omuntu asobola okuyita mumitendera gyino mwena era asabe nawe!
Ebibi byaffe
Nga tulumizidwa, tuyisa bubi abalala mubugenderere era netusobya gy'ebali. Kyamuwendo obutaleka bintu binno wabula okwenenya era netusaba okusonyiyibwa. Kakasa bulikyona ekija eri endowoza yo mumangu ddala!
Okwesonyiwa
Ebisera ebimu twenyigira oba netwenenya ku lw'ebintu ebimu. Naye Mukama Katonda atusonyiwa era atutukuza mu Yesu Kristo. Okwesonyiwa kitegeza okukiliza okusonyiwa kwa Katonda okukola mu bulamu bwaffe.
“Okusonyiwa” Katonda
Ebisera ebimu tulina endowoza embi eri Katonda oba tufuka n'abalalu gy'ali. Katonda takola nsobi, n'olwekyo muntegera eyo tetusobola kumusonyiwa. Naye kyansonga ffe okuleka empulila zaffe embi eri YE “Katonda”.
Okulemera ku kusonyiwa
Singa empulila zaffe enkade ziba nga zikomawo nate era, wejukize nti gwe wasazewo okusonyiwa era empulila ezo zijakuyita, naye ate waliwo okutebereza nti waliwo obulumi obw'omunda bw'otayanjula mukusokera dala. Awo tusobola okudamu nate emitendera gyino egy'okusonyiwa omulundi omulala ebifo bino bisobole okuwona nabyo.

Wekebere

Twala edakika biri 2 okubuza Mukama ebibuuzo bino era bako by'owandika.

Mukama, ani gwenyina okusonyiwa?
Wuliliza Katonda era wekenenye enkolaganayo (n'abazade, abenganda, amikwano, mililwanajo, b'osoma nabo, n'abasomesa, abakulembeze, n'awekenyini, ne Katonda,.....) Nalumizibwa ntya era ani yanumya?

Ebimu kungeri z'okuzula oba enkolagana n'omuntu omu nunji oba ekyali menyeffu mungeri emu oba endara.

  • Lowoza ku muntu oyo, osobola okumwagaliza ekilunji n'omutima go gonna?
  • Fumintiliza nga osisinkanye omuntu oyo mukubo, oyinza kuwulila otya?, okyayina obusungu?

Okwegezamu/okuteka munkola

Bulumiki bwenandiyagade okwanjula mukusoka?
Ani ayinza okumpagila mukino? Kakasa ngeriki gy'oneyongera!