Version: 1.0

Okukwasaganya sente

Other languages:
More information about Ganda

Obanga nyinji oba ntononyo- buly'omu ayina sente.Tufuna sente, netugenda okugula ebintu, tutunulira emiwendo era netusalawo obanga ekintu ekimu kigwanira omuwendo ogo kuffe: bulilunaku twetaga okukola okusalawo ku kiki kyetwetaga okukozesa sente zetuyina.

Kikulunyo okujukira: Sente kikozesebwa. N'akapapula ako kekamu akabanka nsobola okuleta omukisa oba obulabe. Tuyina obuvunanyizibwa kukiki tyetukozesa ne sente zaffe era n'ebyo byetulina- Katonda agya kutukwata ab'obuvunayizibwa kulw'ekyo ky'atwegisiza.

Yesu yayogera nyo ku sente.Mukisera ekyo era nga munakuzino,waliwo ekibuzo kyekimu: Tuyinzatutya okukwasaganya sente obulunji? Mubisera Bye tekinoloje teyali munji nyo era enkwasaganya ya sente teyali nga bw'eli kati. Naye ekinyusi kikyali kyekimu: Sente ziyolesa ebigendelerwa byaffe. Zelaga ekituffu muffe kyetufako.

Okutunulira emitima gyaffe

Tusobola okukozesa omulamwa gwa sente nga endabilwamu okumanya ebintu eby'obulabe muffe:

Obunakyemalira
Twemalilira nyo ffekanafeka."Nga tugamba, byonna byange! siyina kyengabana kyonna!"
Obuuja n'omululu
Tetukusidwa n'ekyo kyetuyina. Twegelageranya n'abalala netulowoza nti, "Ayinna ekisinga kunzekyenyina! Nkyetaga nange!"
Obubambavu
"Nsingako kubalala. Mutunulile!"
Obwelalikilivu n'okutya
"Siyina kimala. N'awonawo ntya singa...?"

Kiiki kubinno ebili mumutima go? Saaba Katonda okusonyiyibwa.

Beela mwenkanya

Ku sente kujilako okukemebwa. Oba kumulimu, nebalilwana bo oba n'emikwano, oba nga osasula omusolo eri gavumenti: Waliwo engeri ez'okulimba abalala. Abamu bo bamenyi b'amateka,abalala tebategelekeka,era nengeri endara zisobola okubera mumateka naye nga sizabwenkanya.Naye Yesu teyalimbako ku bantu era mubulambulukufu yagamba,"Kolera abalala ekyo kyoyagala bakukolere,"(Lukka 6:31) era "omukozi agwanira ky'akolede"(Lukka 10:7).

Bwetulimba omuntu omulara, obulumi obujja eri omuntu oyo busubilwa, n'olw'ekyo tw'esulilayo gwanagamba okubalimba.Newamkubade singa ebeera kampane nga neene oba gavumenti yaffe, tusobola okubera n'ebitukugira bitinni. Naye, ekikyamu kisigara kikyamu.

Katonda, Ludawa wempisiliza abalala mubutari bwenkanya? Ludawa wenyononede oba wempitide ku mateka?

Kiki kyenkola ne sente zange?

Katonda ayagara tukwasaganye sente zaffe n'obuvunanyizibw era tubere abantu abeesigwa n'ekyo ky'atwesigisa. Ekyo kitegeza:

  • okumanya sente zange gyezigenda (osobola okukozesa akatabo akenbaliliro, omukutu nga gwambaliliro, n'ebilara.)
  • okufayo era n'okukozesa obulunji ekyo ky'anesigisiza
  • obutamala gakozesa nga bwosanga
  • okwebuza ku Katonda ebilubililwa byenyina okukolelera

Kyamugaso nyo okwegendeleza era n'okubera omugezi obutakomekeleza kwesiga byanfuna okusukuluma (Abaluumi 13:8). Wayinza okuberawo ensonga enunji okugwa mumabaja: ebilubilirwa ebinene nga okutandika kampuni oba okuzimba enyumba kiyinza kusoboka mungeri eyo yokka. Naye waliwo engeri endala nyinji ezokugwa mumabanja enkyamu. Eky'okulabirako: Negelageranya kubalala eranga njagala oluwumula olusuffu oba ekintu ekipya kyendabye ku bulango kyesisobora nakwetusako.

Katonda, Bilubilirwa ki by'oyagala nkolelele era ntelekere? Katonda, Ludawa wensasanyiza sente mububi?

Okufunna n'okugaba

Katonda agamba nti ali Taata omulunji afaayo gyetuli. Tuyinza okubusabusa kinno, naye ekyadala kilinti Afaayo okusinga ffe bwetuyinza okwefaako. Bulikimu kyetuyina twakifuna kuva eri Katonda, n'olw'ekyo waliwo ensonga nyinji nyo okumwebaza.

Ffena twatandika obulamu bwaffe mubutto nga tuwebwa buwebwa. Katonda ayagala tukule era tuyige okutwala obuvunanyizibwa obw'obulamu bwaffe era n'obwabalala. Kinno kitegeza okugabana ekyo kyetuweledwa era n'okusiga mw'ekyo Katonda ky'ayagala. Nga Katonda bw'ayagala okugaba, Ayagala twagale okugaba era nga tukikola mudembe!

Yogerako ne mukwano go oba omuyigiliza wo kungeriki gy'oyinza okusiga mubwakabaka bwa Katonda.

Ebilubililwa byange

Katonda, kiiki ku milamwa gyinno gy'oyagala okogerako nange?

Tekateka ebilubililwa mungeri ki gy'ogenda okuteka munkola ekyo Katonda ky'akulaze leero. Saaba omutendesi omulunji okuyimilila naawe mw'ekyo. Nonya omuntu omw'eluffu, omugezi era atalikumulamwa gwa kutunda byamaguzi.

Ebizibu ebisinga ebili mu kuyiga okukwasaganya sente mungeri enunji zakusangibwa ebisera ebisinga mumitima gyaffe. Okufuka owedembe,sooma kububaka bunno "Okwatula ebibi n'okwenenya" ne "Okwegobako endabilwamu ezisigidwa lanji" nga oliwamu n'omuyambi wo.(Tandika n'ekibuzzo:"Katonda, ndabilwamu ki mwendaba sente?")