Version: 1.0

Okusisinkana kw'okutendekebwa mubufunze

Kakasa nga osisinkana akabinjako buli wiiki obuteyoza oba oluvanyuma lwa wiiki 2. Twala akasera okwetekateka kulwabuli lusisinkana, musabilagane era mubuze Katonda ky'ayagala okubagamba kulusisinkana lw'akabinja kamwe oludako.

Kyamugaso okuteka Ekifananyi kyenkola ya bisatu kyakusatu mumasekati gammwe okujigoberera. Nyonyora lwaki mukola kinno nga mujiyitamu Amateka asatu agasinga obukulu.
Kilunji okwetekateka saawa nga biiri kulw'olusisinkana okutendekebwa era kimala esaawa biili mukutwaliza awamu. Naye bwekiba nga kyetagisa musobola okukikola mubudde obutonotono okusingako awo, oba oly'awo musobola okubuka ebitundu eby'obuvumu. Mungeri zonna kyamugaso okukebera kubudde okusobola okubera n'akade akamara kubuli kitundu eranga kubuli kyakusatu kifunna kyakusatu ku buude.

Ekiiimu kukyakusatu: Okwagala abantu

Okugabana, okw'epima, okugonjora ebizibu era n'okuyimilira buly'omu kulwamune (edakika nga 40)

Edakika 15 1. Oly'otya? (Embudabuda y'obusumba): Twala ekisera okuwuliliza kiki ekigenda mumaso mubulamu bwabuli sekinomu. Omuntu omu bwagabana ku bwetavu ebwenjawulo, twala akasera okutekateka engeri y'okuyambamu mubikolwa era musaabire ensonga enno.
Edakika 15 2. Embalilira Buuza buuli muntu okugabana engeri gyebatuka ku bigendelerwa byebalubilira kumulundi ogwagwa. Nga engeri endala buuza ebibuzo binno bisatu okusinzira ku Mataayo 4:19:

Okuvuba: Wagabana otya ku Katonda mu wiiki eyagwa n'abalala?
Okugobelera: Wagobelera otya Katonda byeyakusomesa mu wiiki eyagwa?

Omuntu bweyagabana olugero lwe oba olugero lwa Katonda n'omuntu omulala, buuza byagenda bitya. Eri abo mukibinjakyo abakulembera obubinja obulala, babuuze mu bulikisera engeri obubinja bwabwe gyebukolamu era obayambeko okugonjola ebizibu.

Mumulimu go nga omukulembeze, tewelabira kugabana ngeri gyewakozemu ebilubililwa byo nga buly'omu bw'akoze. Kakasa nga otondawo embera ezzamu amanyi, bulimuntu yenna wayinza okugabana obuwanguzi bwe mubwelufu nga otadeko n'okulemelerwa kw'abwe.

Edakika 10 3. Okwolesebwa: Okutekawo okolesebwa kitegeza okusiga ekifananyi kw'ekyo ekisoboka eri Katonda era n'obusobozi bw'alaba mubuli muntu. Kinno kigendeledwa okubazamu amanyi okuteka munkola ekyokyebayize n'okubalungamya mumitendera ejj'okutendekebwa. Nga njogerera mungero, esiira ly'amaaso gaffe lisobolwa ovibwako netuda mukutunulira ebigere ob'olyawo n'obukyafu oba n'amayinja agali mumaaso gaffe. Leka tuteke esiira kungeri Katonda gy'alabamu ebintu era tuwe nendowoza ku ddala lyaffe eridako bweliyinza okua.

Osobola okukozesa okolesebwa okwakugabanirwa ko abalala oba osobola okugabana endowoza yo gwe nga omuntu kulw'akabinja ako. Bwekiba kisoboka, bera muyiya nga okozesa empuliziganya oba enkola endala okusobozesa ensonga yo okunywera.

Eky'okubili mubusat: Okwagala Katonda

Okukula munkolagana yaffe ne Katonda (nga edakika anna, 40)

Eddakika 15 4. Okusinza: Tendeleza Mukama era oyolese okusima ko n'okugulumiza ko gy'ali – n'enyimba oba n'awatali nyimba. Kyamugaso okukakasa nga oyolesa mungeri enyangu era esoboka mungeri ey'okukulembera okusinza (okugeza. Akapella k'okusinza, kozesa youtube oba enyimba endara ez'okusinza, sooma zabbuli era webaze okuyita muyyo,...)
Eddakika 25 5. Eky'okuyiga: Soomesa omulamwa era kakasa ebibuzo byebayina. Mungeri endala, musobola okusooma ekitundu kya Baibuli mwenna oluvanyuma n'obuuza kyetuyigamu (osobola okukozesa zuula ebibuzo nga osooma Baibuli). Kakasa nga ekitundu kinno tokiwanvuya nadala kuluda olw'okuteka munkola.

Eky'okusatu kubisatu: Okufula abayigilizwa

Okwetekatekera okuteka munkola n'okukubisamu (nga eddakika 40)

Eddakika 25 6. Okwegezamu: Bweliba nga esoomo liyina enkola eyenjawulo, kikolele mukitundu kinno (Olugero lwange ne Katonda:luwandike wansi kati; Okusaaba:kolangamu ebika by'esaala ebyenjawulo ... N'ebilala). Mungeri endala, osobola okubera nabuly'omu nga asomesa munne mu bubinja bw'ababili. Ekigendelelwa nti buly'omu awulile emilembe mw'ebyo ebili mukuyigilizibwa era naye asobole okutendeka abalala mw'ekyo.
Eddakika 5 7. Okutekawo ebilubililwa: Wa buly'omu obudde obw'okulowoza, saaba era tekawo ebilubililwa mubuntu. Oluvanyuma buly'omu agabane ebilubililwa bye mu kibinja.
Eddakika 10 8. Okusaaba: Musabilagane:kulw'amayi ga Katonda okukola kw'ebyo byoyiza, kulw'okukulemberwa Omwoyo Omutukuvu, kulwensonga ezasekinomu,... N'ebilala. Musobola okusaba nga ekibinja mwenna oba mwegabizemu obubinja obutonotono.

Ebitundu by'olukale

Mu ekifananyi ky'omutendera bisatu kyakusatu, ebitundu ebimu byatekebwa mungeri elabika:ebalilila, okolesebwa, okuteka munkola, okutekawo ebilubililwa n'okusaaba. Binno byebitundu eby'omugaso ebitatekedwa kulekwa. Byamuwendo mukulaba obubinja ebweyongela era n'abayigilizwa okufula abayigilizwa okufula abayigilizwa....
Bwemubanga temuyina budde, musobola okuleka ebimu ku bitundu ebitayina mugaso. Kiyinza okuwulikika obulala, naye atera osobola okulekayo ekitundutundu ekyokuyigilizibwa! Awo oteke munkola okuyigilizibwa okuvudeko awo bulimuntu akakasibwe muuko.