Eby'omugaso

Other languages:
More information about Ganda

Mukatundu kano osangamu obubaka obw'omugaso obw'etagisa ebisera ebisinga mukufula abayigilizwa.

Esomo ly'okutendeka elisoka

Olugero lwa Mukama

Esomo lino erisoka lilina mubufunze entekateka ya Katonda na kiki ky'ayagala muffe.Likozese nga nesomo ery'okutendekebwa erisoka eri omukiliza omupya mangudala asobole okutegera okutegeza k'okusalawokwe era ayige engeri gy'ayinza okunyonyola abalala.

Okubatizibwa

Kozesa esomo lino okutekatekera okubatiza.Mu Biyibuli tulaba nga abantu babatizibwa mu bwangu nga bamaze okusalawo.Osobola okukozesa esomo lino mangudala nga omaze erisoka oba mukasera akalala kona nga oyita mu kutendekebwa.

Okusaba

Nga esomo ery'okubili,lino liwa okutegera okugwanide kumpuligizanya yaffe ne Katonda.Gyiyitemu era tewelabira kuteka munkola engeri ezenjawulo ez'okusabamu nga otendeka omuntu!

Okusonyiwa mumitendera

Mubufunze ku kusonyiwa: Okusonyiwa ky'eki,tukikola tutya era tuyamba tutya abalala mu mutendera ogo.

Okwatula ebibi n'okwenenya

Mubufunye ku kwenenya:Twatula tutya ebibi era netukyuko okubivako?

Akasera ne Katonda

Katonda ayagala okutuyigiliza.Twetaga okuyiga okufuna akadde naye era tuyige okuva gy'ali.Esomo lino linyonyola engeri gyetuyinza okukola kino era litulaga eby'okulabilako ebimu okuva mu Bayibuli ku bantu abamu gyebayinangamu akasera ne Katonda.

Okuwulila okuva eri katonda

Katonda ayagala okw'ogela nabuli omu.Naye tuyinza tutya okumuwulira? Omusomo guno gunyonyora engeri ezenjawulo Katonda mwayita okw'ogera naffe era n'engeri y'okumanya edobozilye.

Ekanisa

Tetuliffeka.Nga tulibumu n'abagobelezi abalala ba Yesu tukola olukungana.Esomo lino linyonyora ekanisa kyeki era nekyekola.

Okuwona

Tusabatutya okuwonyezebwa: Okutandika,kiki kyetukola singa walabika nga awatali kuwonyezebwa kujja,eby'omugaso n'okusingako awo.Obubaka buno butekatekedwa nga osobola okubuwa nek'oyo g'osabira.

Olugero lwange ne Katonda

Katonda bw'akyusiza binji mu bulamu bwange:Nyinyonyora ntya ekyo eri abalala?

Engeri ey'okusisinkanamu

Engeri y'okusoma Bayibuli

Buno obubaka bulina ebimu kw'ebyo eri abantu abagara okutandika okusoma ekigambo kya Katonda era nengeri eyokuzulamu ensisinkana okusoma Bayibuli(ekifanagana nga ky'akusaatu mumitendera).Waliwo era kavazoni akasobola okupulintingibwa mu nzida bili era nekasalwamu ebitundutundu binna.

Ebisatu ku kimu kyakusatu

Ekifananyi n'ebitundu ebyenjawulo ku kusisinkana n'okutendekebwa.Kozesa engeri eno kubuli kusisinkana mukutendekebwa era nemukitundu "eky'okusoma" Somesa bulikade kemusisinkana omu ku bayigilizwa amasomo.

Engeri ey'okusisinkana

Enyonyora kyakusatu ku kimu kyakusaatu mubulambulukufu.Engeri ey'okujuza ebitundu ebyenjawulo munsinsikana ez'okutendekebwa era n'ensonga lwaki ebimu byamugaso nyo okusinga ebilala.

Esaala yabuli lunaku

Obubaka buno butekedwa okupulintingibwa enzida bili era busalwemu ebitundutundu munana.Zivamu bulunji okugeza mu waleti yo okuba nabo bulikisera era obukozese mu kusaba buli lunaku!