download: Pdficon.png
Odticon.png
Version: 1.0

Okuwonyezebwa

Katonda bweyatonda eggulu n'ensi tewaaliwo bulwadde bwonna yade okuffa. Newankubadde, okuva abantu bwebajeemera Katonda mukusooka, tufunye endwadde munsi. Eno si y'engeri gye twakolebwamu mu kusooka era kulw'okwagala Kwe gyetuli, Katonda ayagala okuwonya era n'okukomyaawo abantu. Kulwakino yalina enteekateeka ey'enjawulo, eyali okutusindikira omulokozi. Kumulokozi oyo Bayibuli egamba: “Okuboneleze okutuletera emilembe kujabera ku Ye, era n'olw'ebiwundu Bye tuwonna” (Isaaya 53:5).

Omulokozi onno ye Yesu, Omununuzi. Bweyali kunsi, Yesu yawonya abantu banji (eky'okulabirako 5:17-26). Okusinziira kunteekateeka ya Katonda, Yesu yaffa kulwaffe nga ssaddaaka era n'azuukira nate tusobole okufuna obulamu obujja. Newankubade takyali kunsi, akyali y'omu era akyayina amaanyi gonna okuwonya abantu era n'okubasumulula. Atuyita tumugoberere era n'okugondera byeyagamba. Kino kye kisinga obukulu mu maaso ga Katonda, nti tusalawo okukkiriza okuwaayo kwe era ne tufuna okuwonyezebwa mu neewulira ne mu by'omwoyo.

Yesu ayita abagoberezi be okusabira abalwadde era atuwa amaanyi okukola bwetutyo. “Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri wamu era n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba badayimooni bonna n'okuwonya endwadde. N'abatuma okubuulira ku bwakabaka bwa Katonda era n'okuwonya abalwadde.” (Luuka 9:1-2)

Engeri y'okusaba (okwanjura)

  • Sooka obuuze omuntu oyo: “Buzibu ki ddala? Kiki kyenina okusabira?”
    Era buuza “Olina obulumi oba obulemu bwonna mu kiseera kino?” (olwo oluvannyuma lw'okusaba osobole okumanya oba waliwo ekikyuse)
  • Nyonyola nti ogenda kusaba essaala ennyimpi mu linnya lya Yesu era ogenda kubateekako emikono gyo. Saba olukusa lwabwe.
  • Bateekeko emikono gyo mu ngeri esaanidde.
  • Ng'osaba, yogera butereevu eri obulumi oba ekitundu ky'omubiri n'ebirala.
  • Kuuma amaaso go nga magule ng'osaba osobole okulaba oba nga waliwo ekituukawo.
  • Saaba esala ennyimpimpi. Okugeza nga sentensi emu nti “obulumi, genda mulinya erya Yesu! Amina.” kimala.
  • Oluvannyuma lw'okusaba, buuza omuntu oyo: “Olina ky'owulide? Obulumi buli butya kati?”
    Osobola okukozesa ekigera kino: “Okutandikira ku zero (tewali bulumi bwonna) okutuka ku kkumi (obulumi obuyitiridde), kyali kitya emabegako? Kati kiri kitya?”
    Bwe baba nga baalina obulemu, basabe baddemu okwegezesa balabe oba waliwo enkyukakyuka ebaddewo.
  • Weeweeyo okweyongera okusaba. Ebiseera ebisinga okuwona kujja mutendera ku mutendera oba oluvannyuma olw'okusaba emirundi egiwerako.
  • Omuntu bw'afuna okuwonyezebwa: Mwebaze Yesu mwenna!

Bino bikulu:

  • Okusaba “mu Linnya erya Yesu” tekitegeeza kukozesa ngeri yabufuusa. Kitegeeza okuwa Yesu ekitiibwa olw'ebyo by'akola n'okukakasa nga buly'omu eyeetabye mu nsonga eno ajja kumanya oluvannyuma ani yavaako okuwonyezebwa kuno.
  • Ekitono omu kubetabyeemu yeetaga okuba n'okukkiriza okwanamaddala mu Yesu, nga yeesiga nti asobola okuleeta okuwonyezebwa. Okukkiriza okwanamaddala kulinga ekinywa: Gy'okoma okugikozesa n'okugitendeka, gye yeeyongera amaanyi. Singa okyawulira ng'ekizibu ekimu kikuzitoowereddwa, weeweeyo okusaba mubiseera ebyenjawulo wamu n'abalala abalina kubumanyirivu obusingawo mukusaba okwo'kuwonyezebwa.
  • Leka abantu babeere beegendereza nga bagezaako okukozesa omubiri gwabwe, nga bwebayinza okutegeera emibiri gy'abwe okusinga. Singa omusawo alina obujanjabi bweyabalagira, omusawo alina okukakasa okuwonyezebwa n'okuwa ekiragiro okukomya obujanjabi obwo.

Singa okuwonyezebwa kulabika nga okutajja...

Okuwonyezebwa oba enkyukakyuka tetera kujja mangu nga mwakamala okusaba, ekitono enyo si mundabika. Kino kiyinza okusinziira kulw'ensonga ez'enjawulo:
Obutasonyiwa, ekibi (Yakobo 5:15-16), endya embi, obutafaayo eri omubiri gwo, okunyigirizibwa oba okulumbibwa kw'emizimu, obutakkiriza bwaffe (Mataayo 17:14-21), n'ebirala. Oba kiyinza okubera nti Katonda alina ekiseera eky'enjawulo (Yokanna 11).

Emirundi mingi okusinga bwe kiri mu mbeera ng'ezo, ensonga omuntu oyo gy'akugamba ob'olyawo si ky'ekizibu ekikulu. Ekisinga mu byonna kiri ku kuzuula ekituufu ekivaako obubonero okusobola okukigonjoola. Kozesa essaala zino ennya wammanga ku kino:

Essaala nnya eziyamba

  1. “Katonda, nsaba okole mu mbeera eno kyonna ekisinga okukugulumiza.”
  2. “Nsaba ondage ky'oyagala okunjigiza ku mulundi guno.”
  3. “Nsaba ombikkulire ensibuko oba ekigendererwa ky'obulwadde buno.”
  4. “Katonda, nkole ki ekiddako?”

Buuza omulwadde oba nga waliwo kyona ekizze mundowooza ye. Katonda bw'aba abikkulidde ekintu kyona gy'ali oba gy'oli, sooka okwasaganye ekyo.

Enkwatagana wakati w'omubiri n'omwoyo

Emmeeme yaffe etegeeza omubiri gwaffe singa waliwo ekikyamu. N'olwekyo, ebizibu by'omubiri bisobola okubeera n'ekivaako mu bulamu bwaffe obw'omunda era nga bwe kityo bwe bubonero bwokka obw'ekizibu kyenyini.

Mu mbeera eyo, waliwo okugasa kutono nyo okw'okusaba okuwonyezebwa okw'omubiri. Wayinza okubaawo enkyukakyuka mukusoka, naye obubonero bujja kukomawo nga wayise akaseera. Wano tulina okukwasaganya ekizibu ky'omumwoyo era bwetukola kino, obubonero bw'obuliwo bujja kugendera mutendera ku mutendera.
Ekika ky'obulwadde ebisera ebisinga kiwa ku kizibu eky'omwoyo.

Ekyokugeza obulumi munsingo
Ekikoligo ekikyamu kiyinza okuba nga kinzitowerede ne/oba nga nsitula emigugu gy'abalala obuzito mu butuufu sirina kwetikka (Mataayo 11:30).

Naye tosala nga musango mu bwangu-bulikiseera wegendereze okuwuliriza Omwoyo Omutukuvu n'okukolagana n'omuntu oyo n'ekigendererwa ekirungi eky'okwagala n'okubaagaliza olw'obulungi bwabwe!