Okubatizibwa
Olugero
(Mataayo 3:11, 13-17; 28:18-20)
Yesu nga tanatandika kusomesa kwe na kuwonya bantu, yagenda ku mugga Yorodan okubatizibwa. Nabbi erinnya lye Yokanna yali eyo nga ayita abantu okukyuka okuva mu bibbi kubanga Omulokozi yali ajja. Yesu yeyali Omulokozi oyo gwe balibalindilide!
Yesu teyalina bibbi okwenenya, naye yayagala okubatizibwa Yokanna okubera eky'okulabilako gy'etuli ffe okugobelera era n'okulaga nti akaanya n'enjiri ya Yokanna. Mukusoka Yokanna yali nga tayagala kubatiza Yesu, ky'ava amugamba “Nze ninna kubatizibwa gwe!” Yokanna yamanya nti Yesu yali waguluwe. Newankubade Yesu, bweyamala okumugamba nti ekyokyekyali ekituffu okukola,“Yesu okubatizibwa Yokanna”, awo Yokanna nakiliza okubatiza Yesu.
Yokanna n'abatiza Yesu. Awo Yesu bweyanyikibwa mu mazzi era n'avamu, edoboozi lya Katonda neliva mugulu nga lyogera, “Ono yemwanna wange gwenjagala; era gwensanyikiramu.”
Kunkomerero y'obuwelezabwe ku nsi, Yesu yalagira abagobelezibe okugenda bafule abayigilizwa abantu bonna munsi era babaabatize mulinnya lya Taata, n'Omwanna, n'Omwoyo omutukuvu. Era babayigilize okugondera bulikimu Yesu kyeyabalagira, Abayigirizwa b'akola nga bwebalagilwa era bagenda nga buliwamu, nga babatiza abo abalinga basazewo okufuka abagobelezi ba Yesu.
Teka munkola nga obulila olugero lunno!
Ebibuzo
- Kiiki ky'oyiga ku kubatizibwa okuva mu lugero luuno?
- Kiiki ky'oyina okukiliza?
Amakulu g'okubatizibwa
Ekigambo “okubatizibwa” kitegeza “okunyika” nga bw'oyinza okulongosa oba okw'ozza olugoye,(osoka kulunyika). Nga Yesu bweyabatizibwa, buliyena amukililizamu yetaga okubatizibwa naye.
Yesu alagira abagobelezi be kunkomelero y'enjiri ya Mataayo:
“.... Mubabatize mu Linnya lya Taata, n'Omwanna era n'Omwoyo Omutukuvu.” (Mataayo 28:19)
Amakulu g'olunyiliri luuno galabisibwa mu Bikolwa by'abatume 2:38 (osobola okusa olunyiliri luuno mu bwongo):
Petero naddamu, “Buli omu kumwe alinna okw'enenya ebibibye era adde eri Katonda, era abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo okusonyiyibwa ebibi bye. Awo onafuna ekilabo ky'Omwoyo Omutukuvu.”
Okulongosebwa mu linnya lya Taata...
Okwatula ebibi n'okwenenya
Twatula ebibi byaffe era netukyuka okubivako. Tetubera nga ababyeze netubisa wansi wa kapeti, naye tubyatula (1 Yokanna 1:9). Twogera engeri zonna zetubademu nga tukontana n'okwagala kwa Katonda. Tusaba Katonda okusonyiyibwa era netulekela awo okukola ebintu ebyo. N'okuyambibwako Katonda tukyusa endowoza zaffe era neneyisa zaffe era netubelawo nga okwagala kwa Katonda.
Okulongosebwa mu Linnya ly'Omwanna...
Okubatiziba n'amazzi mu Linnya lya Yesu Kristo
Okubatzibwa n'amazzi nako kuyitibwa “okunazibwa kw'okuzalibwa obujja” (Tito 3:5).
Abaalumi 6:1-11 enyonyora okutegeza kunno:
Mungeri yeemu Yesu gyeyaffa era n'azukira, tunyikibwa mu mazza era netufulumamu n'obulamu obujja. Omuntu waffe omukadde omw'ononyi affa era nga tetukyali “basibe eri ekiibi”. Ekyo kitegeza nti tetulina nate kudamu kw'onona. Tulikati “kitonde kijja” (2 Abakolinso 5:17). Mukubatizibwa tuzika obulamu bwaffe obukadde era obulamu bwaffe obupya nebutandika, obulamu obupya obutukilide nga bukulemberwa Yesu.
Okutukuzibwa mu Linnya ly'Omwoyo Omutukuvu...
Okufunna Omwoyo wa Katonda
Katonda ayagala okutuwa Omwoyo We. Omwoyo Omutukuvu ge “manyi ga Katonda” gyetuli: Atuyamba okukola okwagala kwa Katonda era n'okulwanyisa omubbi sitan. Omwoyo wa Katonda atuletera okubala ebibala ebilunji nga okwagala, esannyu, emirembe n'obugumikiliza (Abagalatia 5:22).
Bwetufuna Omwoyo wa Katonda, waliwo ekitukawo muffe era kinno kisubirwa n'eri omubili gwaffe (eky'okulabirako: Ebikolwa By'abatume 19:6). Tufuna ebilabo eby'enjawulo (1 Abakolinso 12:1-11 ne 14:1-25). Binno buyambi gyetuli era tubikozesa n'eri abalala okusobola okuwulira amanyi ga Katonda era tusobola okubafula abayigilizwa.
Okwetekatekera okubatizibwa.
Osobola okujaguliza okukiliza ko ku kubatizibwa ko!
- Okubatizibwa kulina kubaawo di?
- Anni gwetuyina okuyita?
- Ku kubatizibwa ko osobola okutekateka olugero lwo ne Katonda okubulilako buly'omu engeri Katonda gyeyakulokola era n'akukyusa.
Tekateka akadde okusobola okubatizibwa mu mangu ddala. Yitako mu bibuzo eby'okubatizibwa era ddamu buli kibuuzo kyonna.
Ebibuuzo by'okubatizibwa
- Wayatula ebibbibyo eri Katonda?
- Omanyi era okiliza nti Katonda asonyiye ebibbibyo byonna okuyita mu saddaka ya Yesu?
- Olimwetegefu okuzika obulamubwo obukadde era otandike obulamu obupya ne Katonda?
- Wewayo okugobelera Yesu obutadda mabega?
- Onasigala nga ogobelera Yesu newankubade nga baanakujelega, banakukuba, ab'oluganda bo nga bakweganye, newankubade nga onasisinkana ebizibu ebilala?
- Oyagala okuffuna Omwoyo Omutukuvu?